DANNY NATS
Gusinze Gunsinze
Gusinze Gunsinze
Bwenakusobya nalowooza nti nze ndimulala nnyo wakitalo,
bwenakola ebikyaamu enkumu gyoli eehe n'amalala ne gammera.
Byali bya luli naye nze kyendabye sebo ensi eno ekyuuka, nsaba kisonyiwo ffe tuddemu nga luli, nsaba onziriremu mutaayi wange Ayah yah yah yah yaaaaah
Bambi sonyiwa nze gunsinze, byenakukola amazima siribiddira, mutaayi sonyiwa kubanga nze menyese, mu mutima n'emeeme gunsinze.
Nzijukira bwetwali eri e Butambala mukwano gwange wannyamba wampa eby'okwambala, twabanga ffena ffena ffena gwe mu lutalo lwabasajja olw'okuyiriba ensi eno, tewandabya nnaku, aa aa aa tewansuza bweru aa aa, wampa eby'okulya, (neyanze) wampa eb'okunywa (neyanze), wabula ssebusiru bw'enjoka maama abaganda balugera.
Bambi sonyiwa nze gunsinze, byenakukola amazima siribiddira, mutaayi sonyiwa kubanga nze menyese, mu mutima n'emeeme gunsinze.
Nze nina ennaku enyingi ku mutima mukwano nzize nkulojjere. Mbeera awo nensirika nenkaaba olwokubeera ne nyiike ku mutima, bwobalabalamu nebikyaamu byenakola oh mukwano nensoberwa.
Nzize gyooli, nsaba kisonyiwo, byonna byonna ebikyaamu maama ndayidde nze siribiddamu..................ndayidde nze siribiddamu.
Bambi sonyiwa nze gunsinze, byenakukola amazima siribiddira, mutaayi sonyiwa kubanga nze menyese, mu mutima n'emeeme gunsinze.
Ещё видео!