174 Simanyi Ssaawa W'anajjira
C.S. 542 We Know Not the Time When He Cometh
1. Simanyi ssaawa w'anajjira,
Mu ttuntu oba mu ttumbi,
Ku makya oba kawungezi,
Atuyambe tutunule!
Ettabaza zaffe nga zaaka,
Anatusanga bwetutyo
Ab'omu nju ye nga tulaba,
Nga tumulindirira nnyo.
Chorus,
Nga----tulaba----nnyo,
(Tumulindirira Yesu)
Nga----tulaba----nnyo,
(Tumulindirira Yesu)
Nga----tulaba----nnyo,
(Tumulindirira Yesu)
Tumulindirira Yesu.
2. Lowooza ekisa ky(e) ekingi,
Omuwendo gwe yawaayo;
Yaleka ekitiibwa kyonna,
N'ajja okufa ku lwaffe;
Kale kinsanyusa kye kino
Yesu ffe yatufiirira,
Bwe tulituuka mu ssanyu lye,
Ne tulaba ku maaso ge.
3. Ayi Yesu eyanunula,
omanyi nga nze nsanyuka,
Nga nsuubira okukulaba,
Ndyoke nkwanirize ng'ojja;
Nkusaba, Yesu, onyambe nze
Okulokola (a)balala,
Nendyoka mbaletanga gy'oli
N'essanyu mu ssanyu mu ssaawa eyo.
![](https://i.ytimg.com/vi/D9V_sudq2Eo/maxresdefault.jpg)