Luganda Bible Books - EBIKOLWA BY'ABATUME 7- Baibuli Yoluganda - Ekitabo Ekitukuvu-Namirembe-Israel
1Kabona asinga obukulu n'ayogera nti, “Ebyo bwe biri bwe bityo?” 2Suteefano n'agamba nti, “Abasajja ab'oluganda era bassebo, muwulire. Katonda ow'ekitiibwa yalabikira jjajjaffe Ibulayimu ng'ali e Mesopotamiya, nga tannabeera Kalani, 3n'amugamba nti,‘ Va mu nsi yannyo ne mu kika kyo, ogende mu nsi gye ndikulaga.’ 4Awo n'ava mu nsi y'Abakaludaaya, n'abeera mu Kalani: oluvannyuma kitaawe bwe yamala okufa, n'amuggyayo n'amuleeta mu nsi eno mwe mutudde kaakano; 5so teyamuwa butaka muno newakubadde awalinnyibwa ekigere: n'asuubiza okugimuwa okugirya, ye n'ezzadde lye oluvannyuma lwe, nga tannaba na mwana. 6Katonda n'ayogera bw'ati ng'ezzadde lye baliba bagenyi mu nsi y'abalala; balibafuula abaddu, balibakola obubi emyaka bikumi bina (400). 7N'eggwanga eriribafuula abaddu nze ndisala omusango gwalyo, bwe yayogera Katonda: n'oluvannyuma balivaayo balinsinziza mu kifo kino. 8N'amuwa endagaano ey'okukomola: awo Ibulayimu n'azaala Isaaka, n'amukomolera ku lunaku olw'omunaana: ne Isaaka n'azaala Yakobo: ne Yakobo n'azaala bajjajja abakulu ekkumi n'ababiri (12).”
9“Bajjajja abakulu bwe baakwatirwa Yusufu obuggya ne bamutunda mu Misiri. Katonda n'abeeranga naye, 10n'amulokola mu nnaku ze zonna, n'amuwa okuganja n'amagezi mu maaso ga Falaawo kabaka w'e Misiri, n'amufuula omufuzi mu Misiri ne mu nnyumba ye yonna. 11Enjala n'egwa ku nsi yonna ey'e Misiri n'eya Kanani, n'ennaku nnyingi, so ne batalaba mmere bajjajjaffe. 12Naye Yakobo bwe yawulira ng'emmere enkalu eri Misiri, n'atuma bajjajjaffe omulundi ogwolubereberye: 13n'omulundi ogwokubiri Yusufu baganda be ne bamutegeera: ekika kya Yusufu ne kimanyibwa Falaawo. 14Yusufu n'atuma n'ayita Yakobo kitaawe ne baganda be bonna, abantu nsanvu mu bataano (75). 15Yakobo n'akkirira e Misiri, n'afiirayo, ye ne bajjajjaffe; 16ne batwalibwa e Sekemu; ne baziikibwa mu ntaana Ibulayimu gye yagula omuwendo gw'effeeza ku baana ba Kamoli mu Sekemu.”
17“Naye ng'ebiro eby'okusuubiza bwe byali okumpi, Katonda kwe yayatulira Ibulayimu, abantu ne beeyongera ne baala mu Misiri, 18okutuusa kabaka omulala lwe yabaawo ku Misiri ataamanya Yusufu. 19Oyo bwe yasalira amagezi eggwanga lyaffe, n'akola obubi bajjajjaffe, ng'abasuuzanga abaana baabwe abawere baleme okubeera abalamu. 20Mu biro ebyo Musa n'azaalibwa, n'abeera mulungi eri Katonda, ne bamuliisiza emyezi esatu mu nnyumba ya kitaawe. 21Bwe yasuulibwa, muwala wa Falaawo n'amutwala n'amulera ng'omwana we. 22Musa n'ayigirizibwa mu magezi gonna ag'e Misiri; n'abeera wa maanyi mu bigambo bye ne mu bikolwa bye.”
23“Naye bwe yaweza emyaka ana (40), n'alowooza mu mutima gwe okulaba baganda be, abaana ba Isiraeri. 24Bwe yalaba omuntu akolwa obubi, n'amutaasa, n'amuwoolera eggwanga omuntu eyali akolwa obubi, n'akuba Omumisiri. 25N'alowooza nti baganda be banaategeera nga Katonda agenda okubawa obulokozi mu mikono gye: naye tebaategeera. 26Nate ku lunaku olwokubiri n'abasanga nga balwana, n'agezaako okubatabaganya, ng'agamba nti Abasajja, mmwe muli ba luganda: kiki ekibakoza obubi mwekka na mwekka? 27Naye oli eyali akola munne obubi n'amusindika eri, ng'agamba nti Ani eyakufuula ggwe omukulu n'omulamuzi waffe? 28Oyagala kunzita nze nga bwe watta Omumisiri jo? 29Musa n'adduka olw'ekigambo ekyo, n'abeera mugenyi mu nsi ya Midiyaani, gye yazaalira abaana babiri ab'obulenzi.”
30“Awo oluvannyuma lwe emyaka ana, malayika wa Mukama n'amulabikira mu nnimi z'omuliro nga gwaka mu kisaka, bwe yali mu ddungu ku lusozi Sinaayi. 31Musa bwe yalaba ne yeewuunya ky'alabye. Bwe yasembera okwetegereza, ne wabaawo eddoboozi lya Mukama 32nti Nze Katonda wa bajjajja bo, Katonda wa Ibulayimu, era owa Isaaka, era owa Yakobo. Musa n'akankana, so teyaguma kutunuulira. 33Mukama n'amugamba nti Sumulula engatto eziri mu bigere byo: kubanga mu kifo wano w'oyimiridde watukuvu. 34Okulaba ndabye okukolwa obubi abantu bange abali mu Misiri, ne mpulira okusinda kwabwe, ne nzika okubawonya. Kale kaakano jjangu, nnaakutuma mu Misiri.”
LISTEN TO LUGANDA HYMNS:
[ Ссылка ]
SUBSCRIBE HERE:
[ Ссылка ]
Eno ye Baibuli Y'oluganda era Ekitabo Ekitukuvu so go ahead and Download Books and also get Online Courses through listening to this Luganda Bible Audio. Eno ye Endagaano Enkadde ebategekeddwa Israel Musaasizi.
In case you are looking for a Luganda Bible or maybe listen to an online bible audio in the Luganda language, follow this online bible school with all the Luganda bible books.
These Online Bible caurses are very clear and easy to learn from if you understand the Luganda Language.
SHARE THIS VIDEO:
[ Ссылка ]
VISIT OUR WEBSITE:
[ Ссылка ]
CHANNEL ID:
UCNTCeZ7uD7yIIm0zPWEvDyw
#lugandabible #dramatizedaudiobible #holybible
![](https://i.ytimg.com/vi/IlWlGFPmmvk/maxresdefault.jpg)