Nsanyukira ekigambo kino
Yesu Mukama atwagala nnyo:
Bilimu bingi ebinsanyusa;
N'eky'ekisinga nti Nze kwagala.
Anjagala, Anjagala;
Nga kitalo (o)kunjagala!
Anjagala olw'ekisa kye,
Nange era mmwagala.
Bwe mba nnyonoona ne mmwerabira,
Yesu tandeka kubula ddala:
Ampita mangu (o)kumweyuna ye;
Era anjijukiza okwagala kwe;
Anjagala, Anjagala;
Nga kitalo (o)kunjagala!
Anjagala olw'ekisa kye,
Nange era mmwagala.
Bwe nditunuulira ekitiibwa kyo,
Ndiyimba ntya, bwe siyimba bwe ntyo?
Nnyimba (e)mirembe n'emirembe,
Yesu kiki ekyakunjagaza nze?
Anjagala, Anjagala;
Nga kitalo (o)kunjagala!
Anjagala olw'ekisa kye,
Nange era mmwagala.
Anjagala, era mmwagala ye:
Yakka mu nsi olw'okwagala kwe;
(O)kwagala kwamuleeta ku muti;
Yesu atwagala ffe bwagazi.
Anjagala, Anjagala;
Nga kitalo (o)kunjagala!
Anjagala olw'ekisa kye,
Nange era mmwagala.
Anjagala, Anjagala;
Nga kitalo (o)kunjagala!
Anjagala olw'ekisa kye,
Nange era mmwagala.
#EnyimbaZaKristo #ShieldOfFaith
enjatula mu #luganda #lyrics #YesuAsiimwe
#Anglican #ChurchOfUganda and Catholic transcribed by Joshua Ayebare.
Ещё видео!