Luganda Bible Audio - OLUBEREBERYE 20 - Baibuli Y'oluganda - Endagaano Enkadde - Israel Musaasizi
LISTEN TO LUGANDA HYMNS:
[ Ссылка ]
SUBSCRIBE HERE:
[ Ссылка ]
1Ibulayimu n'ava e Mamule n'agenda mu nsi ey'obukiikaddyo, n'atuula wakati wa Kadesi ne Ssuuli. Awo bwe yali ng'ali mu Gerali; 2Ibulayimu n'ayogera ku Saala mukazi we nti, “Ye mwannyinaze.” Awo Abimereki kabaka w'e Gerali kwe kutuma bamuleetere Saala. 3Naye Katonda n'ajjira Abimereki ekiro mu kirooto n'amugamba nti, “Laba, ggwe oli mufu bufu, olw'omukazi gwe watwala; kubanga alina bba.” 4Naye Abimereki yali tanegatta ne Saala; n'ayogera nti, “Mukama, onotta eggwanga eritalina musango? 5Ibulayimu teyaŋŋamba ye yennyini nti, ‘Ye mwannyinaze?’ Era n'omukazi yennyini n'ayogera nti, ‘Ye mwannyinaze?’ Kye nnakola, nnakikola mu mutima mulungi.” 6Katonda n'amugamba mu kirooto nti, “Weewaawo, mmanyi nga wakikola mu mutima mulungi, era nange kye nnava nkuziyiza okwonoona, ne sikuganya kumukwatako. 7Kale nno zzaayo mukazi w'omusajja; kubanga omusajja oyo nnabbi, ajja ku kusabira oleme kufa; naye bw'otomuzzeeyo, tegeera nga ojja kufa ggwe n'abantu bo bonna.” 8Abimereki n'agolokoka enkya mu makya, n'ayita abaddu be bonna, n'abategeeza ebyo byonna, ne batya nnyo. 9Abimereki n'alyoka ayita Ibulayimu, n'amugamba nti, “Nakukola ki? Kibi ki kye nnakukola ggwe, olyoke ondeetere nze n'obwakabaka bwange okwonoona kuno okunene?” 10Abimereki n'agamba Ibulayimu nti, “Wagenderera ki okukola bw'otyo?” 11Ibulayimu n'addamu nti, “Nnalowooza nti mu kifo kino temuli kutya Katonda; era nti bagenda kunzita olw'omukazi wange. 12Naye kyo kituufu, Saala mwannyinaze, kubanga mwana wa kitange so si wa mmange, kyennava muwasa. 13Kale, Katonda bwe yanzigya mu nnyumba ya kitange n'antambuzatambuza mu nsi endala, ne ŋŋamba Saala nti ‘Kino kye ky'ekisa ky'onoonkoleranga. Mu buli kifo mwe tunaatuukanga; ogambanga nti ono mwannyinaze.’ ” 14Awo Abimereki n'awa Ibulayimu endiga n'ente, n'abaddu n'abazaana, n'amuddiza ne Saala mukazi we. 15Abimereki n'agamba Ibulayimu nti, “ Ensi yange yiiyo; tuula wonna w'oyagala.” 16N'agamba Saala nti, “Laba, mpadde mwannyoko ebitundu lukumi (1,000) ebya ffeeza; nga ke kabonero akakasa bonna b'oli nabo nti tolina musango” 17Ibulayimu n'asaba Katonda; Katonda n'awonya Abimereki, ne mukazi we, n'abazaana be; ne bazaala abaana; 18kubanga Mukama yali asibidde ddala embuto zonna ez'omu nnyumba ya Abimereki, olwa Saala mukazi wa Ibulayimu.
Eno ye Baibuli Y'oluganda era Ekitabo Ekitukuvu so go ahead and Download Books and also get Online Courses through listening to this Luganda Bible Audio. Eno ye Endagaano Enkadde ebategekeddwa Israel Musaasizi.
In case you are looking for a Luganda Bible or maybe listen to an online bible audio in the Luganda language, follow this online bible school with all the Luganda bible books.
These Online Bible caurses are very clear and easy to learn from if you understand the Luganda Language.
SHARE THIS VIDEO:
[ Ссылка ]
VISIT OUR WEBSITE:
[ Ссылка ]
CHANNEL ID:
UCNTCeZ7uD7yIIm0zPWEvDyw
#lugandabible #dramatizedaudiobible #holybible
![](https://i.ytimg.com/vi/aTsgVX7bAEQ/mqdefault.jpg)